Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 244 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

General Otafiire agenda kusisinkana General Kayihura ku nsonga za Kirumira

February 21, 2018 · Mubiru Ali

Maj. General Kahinda Otafiire,  Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka ategeezezza ababaka mu Lukiiko olukulu olw'eggwanga nti agenda kusisinkana Ssaabapoliisi General Kale Kayihura ku nsonga ezikwatagana n'okukwatibwa kwa Muhammad Kirumira eyali DPC w'e Buyende. 

Gyebuvuddeko omwezi guno, Police yayungula abawanvu n'abampi nebazinda amaka ge agasangibwa e Gogonya Bulenga mu Disitulikiti y'e Wakiso, bamale beeyambisa amaanyi omwali n'okusala oluggi nebamutwala okuvunaanibwa misango. 

Otafiire annyonnyodde bingi ku nsonga eno era n'ategeeza nti agenda kukola kyonna ekisooka ensonga eno eggwe bulungi. Byonna abinnyonnyodde ba kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulera eddembe ly'obuntu.