Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 473 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

General Kayihura avumirira obulumbanyi ku Police.

March 25, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabaduumizi wa police avumiridde ebikolwa eby’obulumbaganyi ku Police ye Kidodo e Kasese.

Kayihura yadduse za mbwa e Kasese oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno omwafiiridde omuserikale wa Police Charles Kasimba gattako n’omulumbaganyi omu Mbusa. Wabula omuserikale omulala Nelson Bwambale yabuuseeyo na biwundu.

Kayihura agamba nti obulumbanyi buno buli ku ggwanga ne bannansi, wabula n’akukkulumira obugayaavu obwabadde ku Police eyo wakati mu bulumbaganyi.

Ssaabapoliisi alabudde abo bonna abenyigira mu bikolwa bino nti balye kamanye ng’akoza n’owebbwa kubanga amateeka gaakubassaako omukono ogw’ekyuma.

Kayihura yakyaliddeko omuserikale eyabuuse n’ebiwundu Nelson Bwambale mu ddwaliro eriri e Kilembe.