Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 717 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Gen. Muhoozi alagidde abebyokwerinda okunoonyereza ku byabawagizi be abakubwa amasasi

January 3, 2024 · Mubiru Ali

Gen. Muhoozi Kainerugaba; “Tusinza Mukama nti omuwagizi waffe owamaanyi omusumba Bugingo yasimattuse okuttibwa ekiro ekiyise bweyabadde avuga ngadda awaka. Njogeddeko naye era ali bulungi. Yafunyeeko ekiwundu kitono ku kibegabega ekya kkono. Mukwano gwe era mmemba w’e kkanisa ye yattiddwa. Nkubiriza abebyokwerinda okukola okunoonyereza mu bwanu abo abakikoze bavunaanibwe. Naye abamenyi b’amateeka bano bebaani? Ba ADF oba waliwo abajinga abalala? Twetaaga okuddibwamu eri ebibuuzo bino. Buno obulumbaganyi bwakubiri ku bawagizi baffe mu myezi 8 egiyise naye tewanabaawo muntu akwatibwa. Omusango gwokutta Isma Olaxess tegwafundikibwa. Nziramu okwebaza Mukama nti Pastor Bugingo yasimattuse obulumbaganyi buno.”