Breaking
News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa, News: Minisitule yebyentambula nenguudo mu Ggwanga eguddewo mu butongole olutindo ku mugga Katonga ku luguudo lwe Masaka okutandika okukozesebwa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 133 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM
News

Gen. Moses Ali tasaanye kwesimbawo – Kakwenza ne Kiggala

November 5, 2025 · Mubiru Ali

Omulwanirizi w’Eddembye lyobuntu @Kakwenza Rukirabashaija wamu ne Ssuuna James Kiggala baddukidde mu Kkooti egonjoola ensonga za Ssemateeka ngabawakanya ekyokusunsula Rtd. Gen. Moses Ali 86, okuvuganya ku kifo ky’Omubaka wa Adjumani West.
Bano bagamba nti okusinziira ku ndabike kyeyoleka lwatu nti mulwadde muyi nga talina busobozi buteesa n’okukiirira abantu obulungi.
Bano bagamba nti okusinziira ku kawaayiro 2 ne 137 mu ssemateeka, ekyokuwandiisa omuntu alabikira ddala nti munafu nga Gen. Moses Ali okukwatira National Resistance Movement – NRM bendera kuba kulinyirira ddembe lya Bannayuganda eryokukiikirirwa wamu n’obukulembeze obulungi.
Bano baagala Gen. Moses Ali, NRM, Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda wamu Attorney General baveeyo bewozeeko.
Bano bagamba nti Moses Ali bweyali akwasibwa empapula ezokusunsulwamu nga 17-June-25, ku kitebe ky’Akakiiko ka NRM, Ssentebe waako Dr. Tanga Odoi yawalirizibwa ogutwalira Gen. Ali empapula mu motoka weyali atudde kuba yali tasobola kwogera yadde okutambula.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains