Breaking
News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka, News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 91 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Gen. Kayihura awumuziddwa mu maggye

August 31, 2023 · Mubiru Ali
Eyaliko Omuduumizi wa Uganda Police Force, Gen. Edward Kale Kayihura olunaku olwaleero agenda kuwummula emirimu gy’eggye lya UPDF mu butongole wamu n’abajaasi abalala 10 bwebenkanya eddaala. Bano bawummuziddwa Pulezidenti w’eggwanga era omuduumizi w’amaggye ow’okuntikko Gen. Yoweri Kaguta Museveni wamu n’abajaasi abalala 99 abali ku madaaala aga waggulu.
Gen. Kayihura olunaku lw’eggulo Kkooti y’amaggye yalangiridde nga bwemuggyeeko emisango gyonna egibadde gimuvunaanibwa okuva mu mwaka gwa 2018.