Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 328 listening Simba FM Live

Gen. Kasirye Ggwanga wakuziikibwa enkya ssaawa 4 ez’okumakya

June 11, 2020 · Mubiru Ali

Eggye ly’Eggwanga erya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF livuddeyo nerifulumya enteekateeka y’okuziika omugenzi Maj. Gen. Ggawaleggalabi Waswa Samwiri Kasirye Ggwanga eyafa nga 9-June-2020 mu Ddwaliro e Nakasero.
Gen. Kasirye wakuziikibwa olunaku lw’enkya ku ssaawa nnya ez’okumakya (10am) ku kyalo Nkene, e Busujju mu Disitulikiti y’e Mityana. Ono wakuziikibwa mu ngeri eri ‘scientific’ nga abantu batono nnyo bebagenda okukirizibwa okwetaba mu kuziika naddala ab’oluganda lwe. Eggye lya UPDF wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala byakubeerawo okuteekesa ebiragiro byonna mu nkola naddala eby’okuziyiza okusaasana kw’ekirwadde kya #COVID-19.
UPDF egamba nti tesuubirayo nkungaana zangeri yonna era bakugoberera ekiragiro kya ‘Social Distancing’. Bannamawulire okuva mu kkampuni 2 zokka bebakiriziddwa okubeerayo okuweereza amaziika ga Gen. Kasirye n’abalala kwebanabifunira.