Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Gen. Gutti awandiikidde CDF amuwabule ku kyokusonyiwa Kayihura

February 11, 2021 · Mubiru Ali
Kkooti y’amaggye e Makinye ewandiikidde Omuduumizi w’eggye lya

Uganda People’s Defence Forces – UPDF Gen. David Muhoozi nga bajjukiza obweyamo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyakola okulaba nti Gen. Edward Kale Kayihura asonyiyibwa.
Mu bbaluwa eyawandiikibwa nga 2-Feb-2021, Lt. Gen. Andrew Gutti Ssentebe wa Kkooti y’amaggye yawandiikidde CDF nga amwebuuzaako ku ki kyalina okuzzaako oluvannyuma lw’abantu abagamba nti bavudde Kisoro okumulumba ababuulire kiki kyakuzeewo ku bweyamo obwakolebwa Pulezidenti Museveni.
Pulezidenti Museveni bweyali anoonya akalulu e Kisoro nga 5-January-2021 abakulembeze okuva mu Disitulikiti Kayihura gyazaalwa nga bakulemberwamu Ssentebe wa LC5 Abel Bizimungu basaba Pulezidenti Museveni okusonyiwa omwana waabwe byeyamusobya. Abakulembeze abalala okuva mu Kibiina kya

National Resistance Movement – NRM

beyala ku ttaka ne Bizimungu okusaba Pulezidenti asonyiwe Kayihura nga bagamba yali musaale nnyo mu kunoonyeza ekibiina obululu mu kitundu.

Mukubaanukula Pulezidenti Museveni yasuubiza nti wakwogerako ne Kkooti y’amaggye balabe kyebayinza okumukolera.