Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 324 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Gavumenti yewale okusosola mu kugereka emisaala – Katikkiro

June 27, 2022 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abakungu mu Gavumenti eyawakati amagezi okwekenneenya mu nsasula y’emisaala mu bakozi ba Gavumenti bonna muleme kubaamu baana na byaana.
Katikkiro abadde mu Lukiiko lwa Buganda mu Bulange e Mengo, n’agamba nti kikyamu Gavumenti okusoosoowazaako aba ssaayansi olwo ab’embeera (Arts) n’ebasuulwa muguluka. Katikkiro agambye nti aba Ssaayansi bamugaso nnyo, nti kyokka n’abembeera z’abantu bamugaso kubanga buli omu yetaaga munne kyenkanyi. Abageraageranyizza ku musana n’enkuba eri ekimera bwategeezezza nti ekimu bwekiyitirira oba okukendeera ekirime kifa. Kigidde mu mbeera ng’abasomesa ba Arts beediima olwakyekubiira wa gavumenti mu nsasula y’omusaala.