Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 232 listening Simba FM Live
News

Gavumenti yetaaga obuwumbi obusoba mu 227 okuggalawo UNRA

April 23, 2024 · Mubiru Ali

Dan Kimosho, Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti aka, Physical Infrastructure Committee avuddeyo nategeeza Palamenti nti singa baggalawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA, olwo ensimbi y’omuwi w’omusolo eziri eyo mu buwumbi 227 zezijja okugenda mukuliyirira ababadde abakozi b’ekitongole kino abanawummuzibwa singa Palamenti eyisa ekiteeso kyokuggalawo UNRA.
Kimosho ayongeddeko nti okusinziira ku ‘Certificate of Financial Implications’ eyasooka okufulumizibwa yalaga nti baali betaaga obuwumbi 11 okuliyirira abakozi ba UNRA singa ekitongole kiggalwawo nti wabula bakizudde nti betaaga obuwumbi obusoba mu 227 nategeeza nti ezo ziba ssente nnyingi nnyo okukozesebwa mu kuggalawo ekitongole nga n’amabanja mayitirivu okuva mu ba ‘Contractor’.