Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 295 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Gavumenti yakwetaaga abakozi abasoba mu 3000 UMEME bwenagenda

July 19, 2024 · Mubiru Ali
Paul Mwesigwa, Managing Director wa Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCLTD) avuddeyo nategeeza nti Gavumenti erina okufuna abakozi 3000 nga bano bakukola mu kitongole ekisaasaanya amasanyalaze, Kkontulakiti ya Umeme Limited bwenaaba eweddeko nga 31 March 2025, era ng’omukisa gwokusooka kuweebwa bakozi ba UMEME abalina emirimu kati.
Okwogera bino abadde alabiseeko mu Kakiiko ka Committee of Commissions, Statutory Authorities & State Enterprises (COSASE), bwabadde ayanukula ebibuuzo ebimubuuziddwa Omubaka wa Mukono North Abdallah Kiwanuka (Mukono North) ku wa Gavumenti wetuuse mukweteekateeka okutandika okukola omulimu ogubadde gukolebwa UMEME.