Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 768 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Gavumenti ya Rwanda eguddewo ensalo y’e Gatuna

June 10, 2019 · Mubiru Ali
Kyaddaaki Gavumenti ya Rwanda eguddewo ensalo yaayo ne Yuganda ey’e Katuna okusobozesa ebimotoka bi lukululana okusobola okutambula obulungi. Rwanda egamba nti egenda kuba egezesa ensalo yayo eya One-stop-border erabe bwekola.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ekitongole kya Rwanda ekivunaanizibwa ku kusolooza omusolo ekya Rwanda Revenue Authority (RRA) kiraga nti ensalo eno eguddwa yakugulwa okuva nga June 10, 2019 okutuusa nga June 22, 2019.
Ebbaluwa eno eraga nti edda mukusaba kw’ekitongole kya Rwanda Transport Development Agency eyanga June 7, 2019, nga kisaba ensalo eggulwewo okusobola okugezesa ebyazimbiddwa ku Gastuna (Katuna) OSBP nga tenawebwaayo mu butongole.
Kinajjukirwa nti ensalo y’e Katuna yaggulwawo mu February 2019 nga abasuubuzi babadde bakozesa ensalo Kyanika ne Kagitumba okuyingira Rwanda.