Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,361 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Gavumenti tegeza neteesa ne World Bank – Hon. Nsaba Buturo

August 21, 2023 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Bufumbira East Nsaba Buturo avuddeyo nawanjagira Gavumenit ya Uganda obutagezaako kuteesa na Bbanka y’Ensi yonna ku tteeka lya Anti-Homosexuality Act 2023, ono agamba nti singa Gavumenti enakiriza okuteesa kijja kuba kikakasa nti Abazungu bebalina okutusalirawo ku nsonga enkulu mu Uganda ne Afirika.
Mu kiwandiiko kya Pulezidenti Museveni kyeyafulumya oluvannyuma lwa World Bank okulangirira nti erekeddaawo okuwa Uganda obuyambi, yategeeza nga Gavumenti bweyali etandise okuteeseganya ne Bbanka eno.
Buturo agamba nti ngogyeeko ekya Uganda okuwolebwa ensimbi emyaka kati 61 tewaliiwo kyamaanyi kiragibwa kivudde mu nsimbi zino ezewolebwa wabula okulemesa Uganda okukulaakulana.