Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 277 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Gavumenti eyimirize okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa – Hon. Dr. Ayume Charles

January 12, 2024 · Mubiru Ali
Dr. Ayume Charles Omubaka akiikirira Koboko Municipality asabye Gavumenti okuyimiriza okuzimba eddwaliro lya Lubowa Specialised Hospital erisuubirwa okumalawo akasiriivu 1 n’obuwumbi 44 olw’ensimbi ezibangibwa Uganda okweyongera nga kati liri mu busiriivu 97. Bino abyogedde oluvannyuma lwa Minisitule y’Ebyobulamu okukiriza nti emyaka 2 egiyise tewabadde kigenda mu maaso mu kuzimba eddwaliro ly’e Lubowa.
Minisita Dr. Jane Ruth Aceng Ocero mukwanukula yategeezezza nti betaaga obuwumbi 2 mu obukadde 700 okulondoola emirimu gyokuzimba eddwaliro lino. Ono agamba nti ensimbi zino zakozesebwa ba yinginiya okuva mu Ministry of Works and Transport-Uganda wamu n’abakungu okuva mu Ministry of Health- Uganda okulondoola emirimu egikolebwa kkontulakita omuggya eyaweebwa omulimu bwanaaba atandise okuzimba kuba Gavumenti teyateekewo nsimbi yonna kweyambisibwa mu kino.