Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 175 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Gavumenti eyagala kukomyaawo SGS

August 16, 2023 · Mubiru Ali
Gavumenti evuddeyo netegeeza nga bwetandise okukola enteekateeka z’okukomyawo Kkampuni ya SGS (Société Générale de Surveillance) okuva e Switzerland eddemu okwekebejja emmotoka ku nguudo okusobola okukendeeza ku bubenje obususse ku nguudo ensangi zino.
Kino kiddiridde ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka okufulumya alipoota ku ntandikwa ya wiiki eno ng’eraga nga abantu abasoba mu 60 bwe baafuna obubenje, abasoba mu 20 ne bafa.
Kinajjukirwa nti kampuni eno yali yayimirizibwa okukola omulimu guno era yagenda okuyimirizibwa ng’ebanja Uganda obuwumbi obusoba mu 100 nga yali emaze n’okuzimba amatabi 7 mu bitundu by’Eggwanga eby’enjawulo.