Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 369 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Gavumenti eyagala ennyimbi n’okuziika bibeerewo ku wiikendi kwokka

January 13, 2022 · Mubiru Ali
Gavumenti erina ekiteeso nga kati eyagala okuziika n’okukungubaga kubeerewo ku wiikendi kwokka mu Yuganda mu kyeyise National Funerals Management Policy 2021. Singa ekiteeso kino kiyitamu kino kiba kitegeeza nti olunaku olwomukaaga ne ssande zezokka ezigenda okuba nga zikirizibwako okuziika n’okukungubaga mu mateeka, nti era olumala okuziika ab’enganda babeera balina okudda ku mirimu mu bunnambiro.
Mu kiteeso kyekimu Gavumenti eyagala okuteekawo ekifo ekyawamu awaziikibwa abakungu mu Gavumenti nga kino ekiyisizza mu kyeyise Zero Draft Policy ng’era okwebuuza kwatandise dda.
Okusinziira ku Mubeezi wa Minisita owa Public Service Grace Mary Mugasa aganba nti okwebuuza ku bantu kugendereddwamu okuzuula ebizibu ebibaawo mukukungubaga wamu n’okuziika nti era ekiteeso kino ekiggya kyakuyamba okuteereza ebyenziika n’emirimu mu Ggwanga okutwaliza awamu. Tubuuza ekiteeso kino kiyamba okukulaakulanya eggwanga oba?