Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 343 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti eweereddwa nsaleesale wa nnaku 3 okuggulawo Makerere Yunivasite

November 7, 2016 · Mubiru Ali

Abakulembeze b’abayizi ku ttendekero ekkulu ery’ Makerere bawadde Gavumenti nsaleesale wa nnaku ssatu okuddamu nebaggulawo ettendekero oba ssi  ekyo baakuyiiya engeri yonna esoboka bo okulyeggulirawo .

Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okulagira ettendekero lino liggalwewo ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde oluvannyuma lw’abayizi awamu n’abasomesa okuva mu mbeera nebeekalakaasa.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku ttendekero ekkulu ery’ Makerere, Sipiika w’olukiiko olufuga abayizi ku ttendekero lino, Abbaas  Kizito annyonnyodde n’agamba nti ssinga ettendekero lino teriggulwawo ku lwokusatu lwa Ssabbiiti eno, bagenda kwekubira enduulu eri ssipiika wa Palamenti , Rebecca Alitwala Kadaga. Abbaas Kizito agamba nti;

”Nsaalase waaku lwakusatu akawungeezi nga baggudde Makerere University. Tetugenda kwongera kufiirwa olw’ebizibu byabwe . Tugenda kuyita buli gwekikosezza mu ggwanga , abazadde baffe, abali mu Gavumenti ba Memba ba Palamenti. Tugenda kuyita buli gwekikwatako tutambule bulungi tugende ku Palamenti”.