Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 175 listening Simba FM Live

Gavumenti evuddeyo ku bubenje

August 11, 2016 · Mubiru Ali

Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda agumizza bannayuganda naddala abo abakozesa oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nti ensonga y’oluguudo luno tesaagiriddwa busaagirirwa wabula Gavumenti egenda kubaako kyekola ku bubenje obugwa wano ne wali obwewanisa bannayuganda emitima.

Rugunda yategeezezza Palamenti akawungeezi akayise nti Minisitule evunaanyizibwa ku by’entambula n’enguudo, Police wamu n’ebitongole bya Gavumenti ebirala bakolaganira wamu okutangira obubenje.

Wabula mu bigambo bye yasibye abagoba b’ebidduka obutavuga ndiima ate n’okwewala okuvuga nga batamidde.