Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 682 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

gavumenti eveeyo evunaane abenyigira mukusengula abantu e Lusanja

December 14, 2018 · Mubiru Ali

Palamenti eragidde Gavumenti eriyirire bunnambiro abatuuze b’e Lusanja abaasengulwa ku ttaka mu bukyamu era evunaane n’abantu bonna abaali emabega w’ekikolwa kino.
Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba (wa Masaka Munisipaali) yaleese ekiteeso mu lutuula n’alambika ebintu musanvu ebirina okukolebwa era ne biyisibwa Palamenti. Abatuuze abasukka mu 350 abaamenyerwa amayumba agawera 160 balina okuliyirirwa bunnambiro. Abantu bonna abaali emabega w’ekikolwa kino bavunaanibwe n’okukakasa nti abatuuze baweebwa eby’okusula, emmere n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo. Gavumenti era yalagiddwa okutegeeza ababaka w’enaaba etuuse ku ky’okussa mu nkola ebyasaliddwaawo mu lutuula olunaasooka nga Palamenti ezzeemu mu January.
Ebirala ebyalagiddwa Gavumenti mulimu okugoberera amateeka gonna agakwata ku ttaka, okunoonyereza ku nsonga zonna endala ez’ettaka n’okubangula abantu ensonga z’ettaka.