Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Gavumenti eveeyo evunaane abasirikale baayo – Parliament

September 5, 2018 · Mubiru Ali

Parliament ya Uganda ewadde gavumenti omwezi gumu gwokka ebeere nga emaze okukwata wamu n’okubonereza abakuuma ddembe b’ebitongole byayo eby’enjawulo ebyebyokwerinda abenyigira mu kulinyirira eddembe wamu n’okutulugunya Ababaka, bannamawulire wamu n’abantu babulijjo mu Arua municipality.

Kino kidiridde alipoota y’akakiiko akalondebwa okugenda okulambula omubaka Kyagulanyi ne Zaake okwoleka nti ddala bano batulugunyizibwa ebitagambika. Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga yasomye okusalawo kwa Palamenti.

Ababaka okubadde ow’abakyala Soroti Angelina Osege, owa Mbale Municipality Jack Wamanga Wamayi basimbye nakakongo nga baagala Gavumenti eveeyo ekangavule abasirikale abo abatulugunya ababaka.

Ye akulira emirimu gya Gavumenti mu Palamenti Dr. Ruhakana Rugunda asabye Palamenti egobe alipoota kukutulugunya ababaka nti yalimu kyekubiira.