gavumenti eveeyo esaasire abantu b’e Ssembabule – Kuteesa

Minisita w’ensonga z’ebweru era Omubaka akiikirira Mawogola North mu Palamenti Sam Kuteesa asabye Gavumenti esaasire abalunzi mu Disitulikiti y’e Ssembabule abali mu bulumi bw’okuggala obutale bw’ente olwa kalantiini emaze omwaka gumu n’ekitundu nga tewali nte etundibwa ekibaleetedde obwavu.

Ono yabadde mu musomo gwa Basentebe b’ebyalo abasoba mu 1500 gwe yategese mu maka ge e Kisekera mu gombolola y’e Lugusuulu mu Disitulikiti y’e Ssembabule n’asaba Gavumenti esibe abo bokka abalina obulwadde ku malundiro gaabwe, abalala bakkirizibwe okutunda ente.

Mu lukiiko luno, basentebe balaze obwennyamivu olw’enguzi esusse Ku Disitulikiti ssaako ebitongole by’ebyokwerinda naddala ku batuuze abagobaganyizibwa ku ttaka n’okweyimirira abantu Ku Poliisi.
Omukolo gwetabiddwako ababaka ba Palamenti n’abantu abenjawulo okuli Minisita Harunah Kyeyune Kasolo, Omubaka omukyala owa Ssembabule Anifa Kawooya, akiikirira Mawogola Joseph Sekabiito, akiikirira Kooki Boaz Kasirabo, Hon Hajji Muyanja Mbabaali n’abalala bangi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
abatuuze basse owa UPDF