Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti ettukizza kaweefube w’okunoonya Kampuni enaakola ku mafuta g’eggwanga

May 29, 2017 · Mubiru Ali
Gavumenti eronzeeyo zi Kampuni bbiri okuba nga zivuganya ku eriwa enaawebwa Kkontulakiti y’okuzimba ebbibiro ly’amafuta agaazuulibwa mu bitundu by’e Bunyoro. 
Bino byogeddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamasannyalaze n’ebyobugagga ebyomuttaka,  Irene Muloni n’agamba nti zi Kampuni nnya zezaaali zassaayo amannya gaazo,  naye ku zino ebbiri kwebagenda okulonda emu egenda okukola omulimu guno.
Minisita Muloni agaanye okwatuukiriza amannya ga Kkampuni zino wabula n’agamba nti ajjakulangirira Kampuni enaaba ewangudde ku nkomerero y’omwezi guno.
Wabula guno mulundi gwakubiri nga Gavumenti egezaako okufuna Kampuni egenda okukola omulimu guno.