Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 513 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti etiisatiisizza okufuumuula abakozi abali ku keediimo bonna

October 13, 2017 · Mubiru Ali

Gavumenti etiisatiisizza okufuumuula abakozi baayo bonna abali mu kwekalakaasa singa tebadda ku mirimu mbagirawo.

Bw’abadde ayogerako ne Bannamawulire ku Ssengejjero lya Gavumenti ery’amawulire mu Kampala ( Uganda Media Center), Minisita Wilson Muluuli Mukasa avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi agamba nti abakozi ba Gavumenti bonna abali mu kwediima bateekeddwa okudda ku mirimu gyabwe bunnambiro okutuusa nga ekiseera Gavumenti kyeyawa eky’ennaku 90 okuddamu okutereeza emisaala gy’abakozi ba Gavumenti kiweddeko era nga kino kiggwako ku nkomerero y’omwezi guno ogwa museenene.

Wetwogerera nga kati abawaabi ba Gavumenti bali mu keediimo era nga katutte olunaku olwokuna nga entabwe eva ku misaala gyabwe n’ebintu ebirala