Gavumenti eteekateeka kujja omusolo ku nsimbi ezigibwa mu bbanka

Omumyuuka w’omuwandiisi w’eggwanika ly’ensimbi mu Minisitule y’ebyensimbi Patrick Ocailip yawandiikidde Ssenkulu wa Bank of Ugandangasaba endowooza ye kukutandika okusala omusolo ku ssente abantu zebajja ku akawunti zaabwe.
Patrick agamba nti mu nsisinkano gyebaalimu nga 5-Feb-2021 ku Minisitule nga mwalimu abakungu okuva mu Uganda Communications Commission- UCC, Uganda Revenue Authority (URA), aba kkampuni z’amasimu ne Bank of Ugandanebateesa nti batandika okujja omusolo ku buli nsimbi egibwa mu Bbanka.
Minisitule egamba nti mobile money egibwako omusolo gwa 0.5% so nga ssente ezigibwayo ku ATM, counter ne agency banking tezigibwako musolo ekyeralikiriza Gavumenti.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply