Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 620 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti etaddewo enaku 3 nga zakukungubagira abafiiridde mu kabenje e Kiryandongo

May 27, 2018 · Mubiru Ali

President Yoweri Museveni alangiridde enaku 3 nga mu ggwanga lyonna nga zakukungubagira abantu 22 abafiiridde mu kabenje ka bus e Kiryandongo.

Ssaabaminisita wa Uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti Pulezidenti alngiridde nti okutandika neleero nga 27 okutuuka nga 29 may bendera zonna mu ggwanga zakwewuubira mumakati nga akabonero akokungubaga.

Era agambye nti Gavumenti yakuwa obukadde butaano abo abaviiriddwako abaabwe okuteekateeka amaziika ate abo abalumiziddwa ennyo bakubawa obukadde busatu okusobola okusasula ebisale by’eddwaliro.

Akabenje kano kaggwaawo ku lw’okutaano ekiro wakati wa Bus ya Gaaga nnamba UAK 562 L bweyatomeregana ne Tractor nnamba UAU 872 M wamu ne Trailer UAT 088 J / UAT 321 M ku kyaalo Nanda, Kilometers 12 okuva mu town ye Karuma mu ggombolola ye Mutunda Kiryandongo District.