Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 317 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Gavumenti etabukidde obwavu e Mubende

April 12, 2017 · Mubiru Ali

Mu kaweefube w’ okumalawo ebbula ly’emirimo n’o bwavu naddala mu bavubuka e Mubende, Gavumenti ewaddeyo yiika z’ettaka  ataano(50) okuzimbako ekkolero erigenda okusunsula ebirime mu kitundu kino.

Bwabadde akwasa musiga nsimbi owa Tunasco Insaat ettaka lino, Minisita omubeezi ow’ensonga za Kampala,  Nnaalongo Namugwanya Benny Bugembe ategeezezza nti musiga nsimbi ono agenda kuzimba kuno ekkolero erisunsula emmwaanyi ne kasooli okwongera omuwendo ku bintu ebirimibwa e Mubende okulaba nga bavubuka beeyongera okufuna emirimo wamu n’ okulwanyisa obwavu.

Namugwanya wano wasinzidde n’akalaatira aba Tunasco Insaat A S okukola kyonna ekisoboka okuwa bannamubende emirimo nti kubanga kye kigendererwa ky’e kkolero lino okutekebwawo mu kitundu.

Ye Meeya wa Munisipaali y’e Mubende, Ssekizivu Innocent ategeezezza nti ekkolero lino ligenda kubayamba okusitula ku mutindo gw ‘e bintu ebirimibwa e Mubende era nga muno bagenda okwongera ku kulunda enkoko n’ebisolo nga beeyambisa ebintu ebiva mu kkolero lino.