Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Gavumenti erowooza ku ky’okukwatizaako amasomero g’obwa nnannyini

March 3, 2017 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi ba Gavumenti , Hon Muluuli Mukasa agamba nti Gavumenti erowooza ku ky’okukwatizaako amasomero g’obwa nnannyini nga nga egasasulirako emisaala gy’abasomesa.

Minita Mukasa abadde ku ssomero lya Munta Royal College e Bombo mukusabira abayizi era nga okusaba kuno kukulembeddwa Ssaabadinkoni w’e Bombo.

Mukasa agambye nti, nga Gavumenti bwekola mu kuyamba ku masomero gano okubagulira ebitabo abaana bye bakozesa mu by’enjigiriza n’okusasulira fiizi abamu ku bayizi mu masomero gaabwe, n’ensonga y’emisaala nayo bagilowoozaako.

Akubiriza abazadde okulaga abaana baabwe akabi akali mu mulembe gwa Dotcom,  n’ategeeza nti tegwewalika kubanga ennaku zino buli kimu kitambulira ku Tekinologiya nti wabula abazadde bafeeyo nnyo okulabula abaana baabwe n’okubalaga engeri entuufu ey’okukozesaamu Tekinologiya ono.