Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Gavumenti ereeta omusolo ku bawangula mu zzaala w’emipiira

April 10, 2017 · Mubiru Ali

Gavumenti egamba nti egenda kutandika okusolooza omusolo ku bantu abawangula ssente mu zzaala w’emipiira.

Bino byogeddwa omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga , David Bahati bwabadde awaayo ennoongoosereza mu tteeka erifuga eby’ennyingiza y’ensimbi n’endala ezeefaananyirizaako mu kakiiko k’ebyensimbi akukulirwa omubaka  mu Palamenti owa Rubanda eyoobukiika ddyo, Henry Musasizi.

Bahati agamba nti okutandika n’omwaka gw’ebyenfuna ogujja, Gavumenti esazeewo okukola enkyukakyuka mu ngeri ey’okuggya  omusolo ku kampuni ez’ebyemizannyo eza zzaala (Sports Betting) nga luli kampuni zino zibadde zisasula ebitundu 35 ku musolo wabula kati zaakusasula ebitundu 20 ate abawangudde baakusasula ebitundu 15.