BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

gavumenti ereeta etteeka ly’ettaka eppya

Ebbago erikwata ku by’ettaka eppya liwedde okubaga nga kati kisigadde eri Minisitule y’ebyettaka okubakana n’eddimu okutalaaga eggwanga nga bebuuza ku Bannayuganda okufuna endowooza zaabwe ku biri mu bbago lino.
Bino byayogeddwa Minista w’ebyettaka, Betty Amongi mu nsisinkano ne Bannamawulire ku Media Centre mu Kampala ng’era okwebuuza ku bantu kutandise leero nga kutandikidde mu Kampala.
Mu bagenda okwebuuzibwako kuliko Bannabyabufuzi, Ab’ebibiina by’obwannakyewa, Bannaddini, ko n’Abakenkufu okuva mu matendekero ag’enjawulo.
Ebikulu ebiri mu bbago lino; mulimu akakiiko k’ebyettaka akapya akatuumiddwa ‘Land Acquisition Tribunal’ nga kagenda kuba katuulibwako abantu 5 okuli; Ssentebe waako, amumyuka Ssentebe, omupunta w’ettaka saako n’abantu abalala 2 nga bano bonna bagenda kuba balondebwanga omukulembeze w’eggwanga oluvanyuma bakakasibwe Palamenti.
Minisita Amongi yannyonnyode nti akakiiko kano akapya akagenda okutondebwawo kaawukanira ddala naako akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereire olw’ensonga nti kano kagenda kutunuulira ekintu kimu kyokka kyakumalawo ndooliito mu bannanyini ttaka ezireetera Gavumenti okukaluubirizibwa okufuna ettaka ly’eba eyagade lyonna okulikozesa .

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply