Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 432 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

gavumenti ereeta etteeka eppya ku by’obuggaga eby’omuttaka

January 16, 2019 · Mubiru Ali

Gavumenti ebaze etteeka erigenda okulung’amya eby’okusima n’okutunda eby’obuggagga by’omu ttaka kyokka tekinaterekeka oba omusenyu egenda kuguzingiramu nga bwe yali esuubizza.
Minisita w’ebyamawulire Frank Tumweabaze yategeeza gye buvuddeko nti omusenyu kye kimu ku by’obuggagga bw’omu ttaka gavumenti by’eyagala okutandika okugabirako layisinsi n’okulung’amya eby’ensima n’entunda yagwo.
Kyokka tekinnategerekeka oba ebbago ly’etteeka erigenda okulung’amya eby’okusima n’okutunda eby’obuggagga bw’omu ttaka erya ‘’ Mining and minerals Bill,2019’’ ligenda kuzingiramu n’ebyokulung’amya okusima omusenyu.
Omumyuka w’omwogezi wa gavumenti Col. Shaban Bantaliza yategeezezza bannamawulire nti olukiiko lwa baminisita olwatudde e Ntebe ku Mmande lwakanyizza ne lukakasa ebbago ly’etteeka erigenda okulung’amya eby’okusima eby’obuggagga bw’omu ttaka, omuli okubiwako layisinsi,okubikuuma,okulung’amya abasimi b’ebyobugagga ssekinomu (artisan), okukuuma obulamu bw’abali ku kubisim. n’ebyobitunda.
Kyokka teyambuludde lukalala lwa byabuggagga bwa mu ttaka bigenda kukwatibwako bbago lino ng’agamba nti teyabaddeyo bye baamuwadde byasoma.