Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 139 listening Simba FM Live

Gavumenti ereeta ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka

August 5, 2016 · Mubiru Ali

Gavumenti evuddeyo n’egamba nti eteekateeka okuleeta ennongoosereza ezaalibadde zikolebwa mu tteeka ly’ettaka erya 1998 nga kigambibwa okuba nga etteka lino teritunuulidde nnyo ba nnyini ttaka .

ย Betty Am0ngo, Minisita avunaanyizibwa ku by’ettaka agamba nti Gavumenti egenda kuleeta mmangu ddala ennongoosereza tteeka ly’ebyettaka okufuba okulaba nga kisobozesa Gavumenti yezza ettaka ly’obwa nnannyini naddala nga egenda kuteekako eby’enkulaakulana eby’enjawulo .

Minisita Amongi bino abypogeredde mu lukungaana lwa Bannamawulire lw’abaddemu ku Yuganda Media Center mu Kampala .

Minisita agamba nti munnongoosereza zino ne ba nnyini ttaka baakuweebwa omukisa okulaba nga bagereka omuwendo gwebaagala mu ttaka lyabwe .