Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Gavumenti eragiddwa okusasula omusibe eyatulugunyizibwa obukadde 200

June 9, 2017 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margaret Mutonyi alagidde Gavumenti okuliyiyira omuvubuka Mulooki Henry gwebaatulugunyiza mu kkomera e Luzira.

Mulooki eyakwatibwa mu 2012 ku musango gw’okukozesa omwana atanneetuuka, abadde taleetebwanga mu kkooti  okuva lweyakwatibwa era nga e Luzira akulunguddeyo emyaka ena be ddu.

Omulamuzi Margaret Mutonyi bwabadde awa ensala ye, agambye nti Gavumenti etunudde butunuzi nga abantu batulugunyizibwa era awo waasaliddewo nti Gavumenti eriyirire Mulooki obukadde 200 era n’alagira atwalibwe ne mu ddwaliro ekkulu e Mulago mu bwangu ddala ate Gavumenti y’erina okusasula.

Muloki yakubwa n’atuuka n’okumenyeka omugongo.