Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 285 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti ekendeeze omusolo ku masomero g’obwa nannyini – Ba naddiini.

October 30, 2016 · Mubiru Ali

Bannaddiini bawanjagidde gavumenti efube okulaba nga ekendeeza ku musolo oguggyibwa ku masomero g’obwa nannyini kubanga gakola kinene nnyo okugunjula abaana b’eggwanga lino.

Bino byogeddwa Rev. Father Samuel K. Wasswa bw’abadde mu kusabira abayizi ba P. 7 abagenda okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo mu ssabbiiti etandika enkya ku ssomero lya Kwagalakwe erisangibwa e Sseeta mu Disitulikiti y’e Mukono.

Faaza Samuel ayongerako nti ababaka ba Palamenti basaanye okuwa omusolo, Gavumenti yeeyambise ssente ezo zigende eri amasomero gano ag’obwannannyini geeyongere embavu kubanga geegakyasinze okuyisiza waggulu abayizi.

Asinzidde wano n’agumya abayizi bano n’okungeramu embavu nti baakuyitira ddala bulungi kubanga Omutonzi ali nabo.