Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 374 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti egenda kuzimba oluguudo e Congo

September 30, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Gavumenti Ya Yuganda Ofwono Opondo yavuddeyo olunaku lw’eggulo nategeeza nga Olukiiko lwa Baminisita lwelwayisizza ekiteeso kya Gavumenti okuzimba oluguudo lwa kiromita 223 munda mu ggwanga eryokumulirwano erya Democratic Republic of Congo.

Kuno kuliko oluguudo oluva e Kasindi okutuuka ku nsalo e Beni lwa kiromita 80, olugatta Beni ku Butembo axis kiromita 54 okutuuka ku National Road n’ensalo y’e Bunagana okudda e Ruchuru – Goma kiromita 89.

Opondo agamba nti okuzimba oluguudo luno kijja kuyamba Gavumenti wamu ne Bannayuganda okutumbula eby’enfuna.