Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 152 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Gavumenti egenda kuwa Ababaka obukadde 100 okubagulirira – Hon. Muwanga Kivumbi

December 12, 2023 · Mubiru Ali
Omubaka wa Butambala, Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi asabye Bannayuganda okuteeka Ababaka baabwe ku nninga babannyonnyole ku ssente obukadde 100 Gavumenti zegenda okuwa buli Mubaka nga tewali kituufu kimanyiddwa kigenda kuzibaweesa.
Kivumbi alumiriza nti ssente ezo Ababaka bagenda kuzibawa ng’akasiimo k’okuyisa ensimbi ezenyongereza mu mbalirira y’Eggwanga wabula abasabye oluzigaana kubanga bwebazirya bagenda kuba bakotoggedde abantu bebakiirira nti kubanga ssente ezo zisobola okukola ebintu ebikulaakulanya Eggwanga.