Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 153 listening Simba FM Live

Gavumenti egenda kukomyaawo Bannayuganda 23 okuva e Ehtiopia

May 17, 2020 · Mubiru Ali

Omubaka omukyala owa Mityana Municipality era nga ye Minister wa ICT ne National Guidance Judith Nabakooba agamba nti Gavumenti yakutandika okukebera ba Ddereeva b’emotoka ennene nga tebanayingira Yuganda balinde ebiva mu ‘samples’ era abanazuulibwa n’ekirwadde kya #COVID-19 sibakukirizibwa kuyingira Ggwanga.
Nabakooba agamba nti Gavumenti bwemalirirzza enteekateeka ezikomyaawo Bannayuganda 23 okuva e Ehtiopia nga batuuka olunaku lw’enkya ku Monday nga 18-May-2020, nti era waliwo ne Bannayuganda abalala 38 abali e Khartoum mu Sudan era nga enteekateeka zigenda mu maaso.