Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 160 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Gavumenti egaanyi ekyokuzza obuggya layisinsi zaba Money Lender

December 18, 2023 · Mubiru Ali
Gavumenti ng’eyita mu Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bibiina ebiwozi by’ensimbi, Hon. Haruna Kyeyune Kasolo eragidde ekitongole ekirungamya abawola ensimbi ekya Uganda Microfinance Regulatory Authority (UMRA), obutazza buggya ndagaano za bawozi ba nsimbi (money lender) bonna mu Ggwanga, olw’emivuyo egyetobese mu mulimu gwabwe.
Mininista agamba omwaka guno bafunye nnyo okwemulugunya okuva mu bantu nga kulaga nti bangi ku bawozi b’ensimbi banyaga ssente z’abantu nga bakozesa olukujjukujju kale nga kyetaagisa okusooka okuyimirizaamu mu kuzza endagaano zabwe obuggya.
Okwogera bino Kasolo abadde atongoza enkola y’okulondoola emirimu gy’abawozi b’ensimbi, nga bakozesa emitimbagano eya Online Performance Monitoring Tool PMT, ereeteddwa omukago ogugatta ebibiina ebiwozi by’ensimbi ogwa Association of Microfinance Institutions of Uganda.
Ssenkulu wa Uganda Microfinance Regulatory Authority, Edith Tusubiira ategeezezza nti ekiragiro kya Minisita bagenda ku kiteekesa mu nkola.