Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 125 listening Simba FM Live

Gavumenti efuumudde abatembeeyi mu Kampala .

October 19, 2016 · Mubiru Ali

Gavumenti eragidde abasuubuzi abatundira ku nguudo mu Kampala baamuke ekibuga mbagirawo era n’eragira abakwasisa amateeka mu KCCA bavumbagire buli gwebakwatako nga yeefudde nampulira zzibi.ย 

Ekiragiro kino kufulumuziddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala , Betty Namisango Kamya mu lukungaana lwa bannamawulire akawungeezi ka leero ku ssunsulire lya Gavumenti ery’amawulire .

Kino nno okubaawo kiddiridde abasuubuzi abatundira mu maduuka okulaajanira ebbanga ekitongole kya KCCA okufuumuula abatembeeyi naye nga kirabika nga kibatuuulira ekyamuli nga essalambwa ly’ensenke era nga nejebuvuddeko abasuubuzi babadde beewera okwambagalaganabo.

Minisita Kamya ayongera nti abantu bangi babadde balaajana nga ekibuga bwekijjudde omugotteko nga okukiyitamu kuba kusiitaana nakusimba kaggo .