Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 456 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Gavumenti edduukiridde ab’e Rubanda n’obuwunga

September 29, 2017 · Mubiru Ali

Gavumenti eddukiridde abantu boomu Disitulikiti y’e Rubanda abaafiirwa abantu baabwe wamu n’ebintu olwa nnamuttikwa w’enkuba eyafudemba gyebuvuddeko n’avaako amataba n’ okuyigulukuka kw’ettaka okwaleka abantu 17 nga baluguzeemu obulamu, ebawadde ensawo z’akawunga 250.

Mu nsasagge eno ,abantu 14 baafuna ebisago eby’amaanyi ate munaana tebakubikako kimunye songa amayumba agassoba mu makumi ataano (50) gasigala ku ddibwa nga n’ennimiro zaasaanawo.
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku busambattuko n’ebigwabitalaze Musa Ecweru, agamba nti obuyambi babusoosowazizza ku abo abaafiriddwa abantu baabwe nga bano babawadde laatiri 300 ssaako n’abo abaafunye ebisago nga bano baafunye laatiri 100.