Fuso asse 3 e Rubirizi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu 3 bafiiriddewo mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Ishaka okudda e Katunguru mu kabuga k’e Rutoto mu gombolola ye Bunyaruguru mu District y’e Rubirizi emotoka ekika kya Fuso nnamba UAZ442F eyagudde neyefuula emirundi egiwerako.

Abafudde kuliko Derrick Bwambale 21, Innocent Kahayika 31 nga bonna batuuze b’e Kasese ne Charles Kigumba 32, ddereeva wa Fuso.

Okusinziira ku DPC w’e Rubirizi Ahmed Hasunira agamba nti Fuso eno eyabadde ettise spare w’eggaali yafunyeemu obuzibu nga erinnya olusozi lw’e Nkombe bwetyo netandika okudda emabega neyfuula neggwa mu kalitunsi.

Share.

Leave A Reply