Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 205 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

FUFA esiimye Onyango, emuwadde kyapa kya ttaka

October 27, 2016 · Mubiru Ali

Omukwasi wa ggoolo ya Yuganda Cranes, Dennis Masinde Onyango aweereddwa ekyapa ky’ettaka ekibiina ekifuga omupiira mu Yuganda ekya FUFA ng’akabonero akamusiima.

Kino wekijjidde nga Onyango ne Club ye ey’e South Africa Mawelodi baawangula ekikopo kya Club empanguzi ku lukalu lwa Africa.

Awo nno kino nekituusa Onyango okubeera munnayuganda asoose okuwangula ku kikopo kino.

Nabwekityo Onyango waakukwasibwa ekyapa kino nga 12 Museenene omwaka guno – Olunaku Yuganda lw’egenda okuttunka ne Congo Brazzaville mu kusunsulamu abaneetaba mu kikopo ky’ensi yonna nga omupiira gwakubeera Namboole.