Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
Sports

FUFA egobye Khalid Aucho mu nkambi ya Uganda Cranes lwa mpisa

March 20, 2021 · Mubiru Ali

KHALID AUCHO AGOBEDDWA;
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga kivuddeyo nekitegeeza nga bwekigobye omusambi Khalid Aucho okuva mu nkambi ya ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes lwokulemererwa okugondera biragiro bya National team Code of Conduct nebyo ebyafulumira mu kiwandiiko kya FUFA nga 4 March 2021.
Uganda Cranes yetegekera emipiira 2 egya AFCON Qualifiers okuli ogwa Burkina Faso ne Malawi wiiki eggya.
Aucho yagaanye okulinnya emotoka FUFA gyeyateekawo okumukima ku isaawe Entebe okumutwala mu nkambi ku Cranes Paradise Hotel-Kisaasi natakoma okwo wabula ne mu nkambi natagendayo okuva lweyatuuka mu Ggwanga.
FUFA egamba nti ttiimu ye eya Misr El Makkasa nekibiina ekitwala omupiira mu Egypt kyategezeddwa dda era ne tiketi emuzza e Egypt yamuweereddwa dda.