Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 263 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
Sports

FUFA egobye Johnathan McKinstry

April 19, 2021 · Mubiru Ali
FUFA EGOBYE OMUTENDESI WA UGANDA CRANES:

Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekitegeeza nga bwekituuse kunzikiriziganya n’omutendesi wa Ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Johnathan McKinstry, nga abadde amaze emyezi 18 nga atendeka ttiimu y’eggwanga.

FUFA egamba nti emusiimye nnyo ebbanga lyakoze naye okutumbula ebitone naddala ku ttiimu y’eggwanga.
McKinstry wagendedde nga awangudde emipiira 2 ku buli mipiira 3 gyabadde mu mitambo gya ttiimu y’eggwanga byebiitundu 67 ebyobuwanguzi okuva mu mipiira 18 okuli okuwangula emipiira 12, 3 maliri nawangulwa 3.