Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 664 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Freeman yebazizza katonda

December 11, 2018 · Mubiru Ali

Ssentebe wa Buganda Twezimbe John Fred Kiyimba Freeman wamu n’ab’omumakaage, beebazizza Katonda olw’okumuwonya akabenje k’eryato akaaliwo nga 24 November, omwafiira abantu abawerako. Omusumba w’essaza lye Mityana Kazimba Mugalu, yaakulembeddemu okusaba okubadde mu maka ga Freeman e Lungujja mu Lubaga. Bishop Kazimba asabye abantu balokoke beekwasa Mukama mu nteekateeka zaabwe zonna zebakola. Okusaba kwetabiddwa Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Nelson Kawalya, omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa, Baminisita ba Kabaka abawerako, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Abaami b’amasaza, bannabyabufuzi okuva mu Gavumenti eya wakati nga bakulembeddwamu Hon. Ruth Nankabirwa. Kinajjukirwa nti abantu abawerako bafiira mu kabenje k’eryato ku Nnyanja Nnalubaale nga muno mwalimu ne memba ku lukiiko lwa Buganda Twezimbe kati omugenzi Yoweri Musisi.