Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 1,106 listening Simba FM Live

Fred Nyanzi akungaanyizza abavubuka okwekalakaasa – SP Onyango

September 17, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi olwaleero bwekoze ekikwekweto ku offiisi za National Unity Platform (People Power – Uganda) nekwata abawagizi b’ekibiina kino nga 20 nga babadde bakungiddwa Fred Nyanzi Ssentamu okwekalakaasa nga baagala Poliisi ekwate Charles Olima aka Sipapa olw’okulumba nebakuba amasasi emirundi ebiri nga 30 – August ne 15 September 2020 ku Offiisi zaabwe.
Poliisi egamba nti bano babadde bazibye ekkubo lya Old Kira Road nebipiira wamu n’emiti. Poliisi egamba nti abawagizi ba NUP besomye okugenda mu maaso n’okwekalakaasa okutuusa nga

Sipapa akwatiddwa.
Abakwatiddwa bagiddwa mu kizimbe kya Nyanzi. Poliisi egamba nti era erina amawulire nti emipiira emirala gisobebwa.
Poliisi esabye abawagizi ba NUP okukozesa ebitongole bya Gavumenti eby’enjawulo bawaabe eyo ensonga zaabwe.