Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Frank Gashumba ne Muganda we bagguddwako emisango emirala 12

February 26, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabawaabi wa Gavumenti aggudde emisango emipya ku munnamitimbagano Frank Gashumba ne muganda we Innocent Gashumba. 

Ng'ayita mu Jonathan Muwaganya omuwolereza wa Gavumenti, aleese emisango emipya kkumi n'ebiri ku booluganda bano ababiri  mu maaso g'omulamuzi wa kkooti yooku Luguudo Buganda, James Eremye Mawanda era kati giweze emisango abiri mu mukaaga 

Mu misango emipya mulimu ogw'okusangobwa ne Stamp za Minisitule omuli ey'ebyobusuubuzi, ey'eby'amateeka n'eyebyebibira nga zonna za Sudan ey'amaserengeta, ogwa Frank Gashumba okuwa ebimukwatako ebitali bituufu eri akulira ebya Passport, okusaba Passport empya nga tawaddeeyo nkadde gyayalina n'emirala.

Nabwekityo omulamuzi awadde nga ennaku z'omwezi 21 Mugulansigo omwaka guno okuddamu okuwulira emisango gino