Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 317 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Fr. Lokodo agobye pastor ssempa

January 13, 2019 · Mubiru Ali

Rev. Fr. Simon Lokodo Minisita avunaanyizibwa ku kwasisa empisa awumuzza Passtor Martin Ssempa okuva ku kakiiko akavunaanyizibwa kukulwanyisa obuseegu mu Ggwanga aka Pornography Control Committee (PCC).  Ebbaluwa eyawandiikibwa nga 18-Dec-2018 etegeeza nga Pastor Ssempa bweyayimirizibwa kunsonga ezekuusa kukulemererwa okukola emirimu gye nga bwekimusuubirwamu.

Rev. Fr. Lokodo agamba nti bayita Ssempa annyonyole lwaki abadde takola mirimu gye natalabikako wabula naddukira mu kkooti nga awakanya ekyokumugoba era nga kati Minisita alindirira ekinaava mu kkooti. Fr. Lokodo agamba nti Ssempa azze bamujjukiza okukola emirimu gye wabula nga buteerere . Kinajjukirwa nti ono azze yebulankanya nga ne kulanaku lw’okutongonza akakiiko kano mu August 2017 teyalabikako.