Breaking
News: Tulina kyetuyita okugwa mu bintu, Bika ki ebya Buganda ebyali bigudde mu bintu ku bwa Katikkiro? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya akaseerezi kafuuse akaseerezi atubira aba atumidde ne leero lindirira envuuma zabakontanyi News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya National Drug Authority NDA kyakutte abantu 2 abagambibwa nti babadde bajjingirira wamu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 221 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
Sports

FMU eteekewo ebintu ebivaamu ensimbi okusinga okusabiriza – Rajiv CMC

February 7, 2021 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Ekibiina ekitaba Kiraabu z’emotoka z’empala wamu ne Piki piki ekya Federation of Motorsport Clubs of Uganda – FMUkyatuuzizza olukiiko lwabonna e Lugogo mu Kampala olunaku lw’eggulo, Pulezidenti wa FMu Dipu Devesh mweyayanjulidde enteekateeka ezakoleddwa FM ez’enjawulo omuli endagaana gyebakoze Development Infrastructure Limited (DI), esangibwa mu Arua okuluba nti batwala omuzannyo guno mu West Nile.
DI yeyamye okufuna ettaka eriweza yiika 30 kwegenda okuzimba ‘motorsport arena’ nga ejja kubeera ebifo bya; emotoka zempaka, motocross, karting ne drifting. FMU yo yakuwabula era nga pulojekiti bwenaaba ewedde FMU yakufunamu emigabo ebitundu 10 ku 100.
Ye Rajiv Ruparelia Chairman Trustee Central Motor Club yawadde FMU amagezi mwesobola okufuna ensimbi eziyimirizaawo ekibiina. Agamba nti singa batunda TV Rights zemizannyo wamu n’ebifo awokulangira mu budde bw’empaka, FMU esobola okwogerezeganya nama kkampuni amanene okubateekamu ensimbi nga siponsa ababatuusaako omuzannyo gwemotoka ne piki piki zempaka.
Okutunda tiketi eri abo abayingira okulaba saketi nga zisobola okwawulwamu awolukale ne VIP.
FMU okutondawo ebintu ebivaamu ensimbi okusinga okwesigama kukusabiriza buli kadde.