Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 734 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ffe tuli ba ddembe, tujja kuyita mu mateeka – Bobi Wine

February 4, 2021 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Enkya yaleero abakungu okuva mu European Union in Uganda batukyaliddeko. Mu nsisinkano eno tubasiimye olwobuwagizi bwabwe eri Bannayuganda okufuna obwetwaze wamu n’okuwa eddembe lyabwe ekitiibwa.
Twogedde okubakakasa nti ffe tetuli bakozi ba ffujjo era netugattako nti eddembe lirina okujjirako enkola eyamateeka.
Bannayuganda baagala obwerufu oluvannyuma lw’okulonda nga 14-Jan era tujja kugenda mu maaso nga tukozesa enkola eziri mu matteka okusalawo kw’abantu. Tukimanyi bulungi nti Bannayuganda ne mikwano gyaffe bajja kugenda mu maasoo okusaba enfuga ey’amateeka, obukulembeze obulungi, ne demokulasiya.”