Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,106 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ffe bebayita abatakkiriza ba “Rebels” twali 4 kati twaweze 32 – Ssekikubo

December 26, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo agamba nti ababaka mu Palamenti ab'ekibiima kya NRM abaasimbira ekkuuli eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti tebatidde olw'okutatiisatiisa nga bwebagenda okukangavvulwa mu kakiiko akakwasisa empisa mu Kibiina. 

Bw'abadde ayogerako mu bantu abeetabye mu kusaba ku kkanisa y'aba Orthodox e Namungoona agamba nti Pulezidenti Museveni alina okumanya nti oludda oluvuganya Gavumenti lugenda lweyongera amaanyi buli olukya era Omuwendo gw'ababaka mu Palamenti abasobola okuyimirira ku magulu gaabwe nebagaana ensonga esaliddwawo bagenda beeyongera nga kati baweze 32.