Breaking
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire. News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 383 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

FDC etegeka kwekalakaasa okulemesa Museveni okulayira

April 25, 2016 · Mubiru Ali

Ekibiina kya FDC kitegeka kwekalakaasa okulemesa Museveni okulayira nga 12/05/ 2016 okuggyako nga Gavumenti ekkirizza ekitongole ekyetengeredde okuddamu okubala akalulu akaaliwo mu gwokubiri nga 18 , 2016 .  

Enteekateeka eno eyanjuddwa amyuka Ssaabawandiisi wa FDC  Kaija Harold nga ayogerako mu lukungaana lwa Bannamawulire olubeerawo buli wiiki ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi mu Kampala .

Kaija agamba nti newankubadde babadde bagondera etteeka ly’enkungaana eribeetaaza okutegeezaako Police, beetegefu okukyuka n’embeera singa Police eneebalemesa .

Wabula ye akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe agamba nti okwekalakaasa kuno kukulu nnyo okulaga nti eyakwata bendera ya NRM yabba bubbi akalulu nga bwekyalabibwa abatunuulizi b’akalulu  ab’ensi yonna n’aba wano .

Mulukungaana lwelumu Ingrid alabudde Museveni obuteetantala kwogera na ba memba ba FDC nga tafunye lukusa kuva mu FDC nga kino akiggye ku lukiiko  Pulezidenti Museveni mweyayitidde abooludda oluvuganya Gavumenti mu maka goobwa Pulezidenti e Ntebe ku nkomerero ya wiiki ewedde .